UG Beat

Home » Lyrics » King Saha – Kimala Lyrics

King Saha – Kimala Lyrics

Synchronized lyrics for Kimala by King Saha

Lyrics Tracklist Comments About

(intro)

Laaa, Waguan, laaa, yeah, eeeh

(verse)

Wano emirembe gyaliwo
Wano emirembe gyaliwo gwe jangu nkubuulire
Wano akamwanyi kaaliwo
Wano akamwanyi kaaliwo nga tumanyi okukalima
Ne ka moringa kaaliwo
Ne ka vanilla kaaliwo nga ne ka pamba tulima
Bano abasajja wajjawo
Bano abasajja bajjawo era byonna okubizisa
Ate gwe olubagambako
Ate gwe olubagambako nti obwo obuyaaye bwakubwa
Buli kimu bakimanyi
Ebitunyiga babimanyi baasalawo okusirika
Oh gwe olubagambako
Eh gwe olubagambako ng’empingo ziruma
Wano enguudo ezaaliwo
Wano enguudo ezaaliwo laba zonna okubomoka
Buli omu ali ku lulwe
Bategeka bugagga bwabwe abasajja baatuta
Emiranga egiriwo
Emiranga egiriwo bano abasajja bakyunya
Twagala batuleke
Twagala bagende kati plan tusala
Banange batuli bubi
Banange batuli bubi teri alina mirembe
N’akatono k’olina
N’akatono k’olina bali ready okukakomya
N’obulamu bw’olina
N’obulamu bw’olina tebeeguya era balumwa
N’embwa zaabwe zoogera
N’embwa zaabwe baaziwa emirimu era mbu zikola
Olaba amasomero
Amasomero mwalimu education naye yafa
Byonna ne babizisa
Byonna ne babizisa ffenna nga tulaba
Buli kimu bakimaze
Buli kimu bakimazeewo eggwanga lizika

(chorus)

Ekimala kimala (mutuleke)
Kimala (tusaba mutuleke)
Bye mubbye bimala (mutuleke)
Bimala (tusaba mutuleke)
Tuli mu miranga (mutuleke)
Wulira emiranga (tusaba mutuleke)
Mwatulimba (mutuleke)
Kati wayise ebbanga (tusaba mutuleke)

(verse)

Bakulu bannamwe baatuwarninga
Baatugamba nti abo abasajja beekyanga
Bannamwe baatuwarninga
Nti akaseera kalituuka abo abasajja okwekyanga
Era akaseera maama kaatuuka
Buli kyaliwo maama kyakyuka
Emirembe egyaliwo gwe gyakyuka
Kati buli wamu emmundu zeesooza
N’olaba abakulu bwe bakaaba
N’olaba abavubuka, abato bwe bagakaaba
Ka sukaali n’okakaaba
Akava, akamere nako n’okakaaba kati
Buli kimu ne tukikaaba
Nga be tukaabira bali mu kukola bubaga
Emirimu ne bagiwamba
Okula n’obuuza ŋŋenda kukola ki?
Amateeka baagakyusa
Amateeka batwalira na mu ngalo kati
Bano abasajja tubakooye
Njagala mufungize era tubagobe kati

(chorus)

Ekimala kimala (mutuleke)
Kimala (tusaba mutuleke)
Bye mubbye bimala (mutuleke)
Bimala (tusaba mutuleke)
Tuli mu miranga (mutuleke)
Wulira emiranga (tusaba mutuleke)
Mwatulimba (mutuleke)
Kati wayise ebbanga (tusaba mutuleke)

(chorus)

Ekimala kimala (mutuleke)
Kimala (tusaba mutuleke)
Bye mubbye bimala (mutuleke)
Bimala (tusaba mutuleke)
Tuli mu miranga (mutuleke)
Wulira emiranga (tusaba mutuleke)
Mwatulimba (mutuleke)
Kati wayise ebbanga (tusaba mutuleke)

(Outro)

Maama n’akaaba (mutuleke)
Nga ne taata akaaba (tusaba mutuleke)
Jajja n’akaaba (mutuleke)
Nga ne neighbour akaaba (tusaba mutuleke)
Owa boda n’akaaba (mutuleke)
Nga n’omusuubuzi akaaba (tusaba mutuleke)
Buli omu n’akaaba (mutuleke)
Temulina kisa alaali (tusaba mutuleke)
Ekimala kimala

Share “Kimala” lyrics

Genres

About “Kimala

“Kimala” is the second track from Ugandan singer King Saha’s third studio album, “100 Songs of Revolution”. The song was written and performed by King Saha, produced by Bassboi, and released through King’s Love Entertainment on May 1, 2024.

The song “Kimala” by King Saha is a protest anthem that expresses deep frustration and discontent with the current state of affairs in Uganda. It laments the loss of peace, prosperity, and integrity, criticizing the leaders who have caused suffering and corruption. The lyrics emphasize themes of exploitation, mismanagement, and the decline of essential services like education and infrastructure. The chorus “Ekimala kimala” (“Enough is enough”) is a call for change and a plea for the oppressive forces to leave the people in peace. The song captures the collective anguish and the urgent need for liberation and justice.

Release Date: May 10, 2024
Writer(s): King Saha
Copyright @ King's Love Entertainment
Producer(s): Bassboi
Track Number: 2

Q&A

Enable Notifications OK No thanks